Omukozi mu loogi emu mu bitundu bye Buwenge tawuni kanso afunye ekyekango bwabadde agenze okulongoosa ekisenge ekimu mu kizimbe bwasanze omwami Alex Muhumuza ow'emyaka 38 n'omukyala agambibwa okuba omufumbo Sarah Namagoye nga balemereddwa okuva mu kifo,
Ono amangu ddala anonyezza obuyambi era nebatwalibwa mu ddwaliro lya Buwenge Health Centre IV.