Ugandan Police Ekutte emotoka 93


 Poliisi etegezeza nga bwekutte emotoka 93 mu bitundu bye Wandegeya, Katwe, Kabalagala, Kajjansi, Kawempe, Jinja Road, Kiira Division, Kiira road ne CPS olw'okusaangibwa nga zaatekebwako obugombe saako nebitaala mu bukyamu ebikola nga eby'emotoka zabakungu nezebitongole ebikuuma ddembe. Banannyini motoka zino bajiddwaako statimenti era bakuwoza. Poliisi egamba ebikwekweto bino bikyagendera ddala mumaaso.